Isaiah 30:2-5

2 a“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,
n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri
okuba obuddukiro.
3 bNaye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
4 cNewaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
5 dbuli muntu aliswazibwa
olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE